Bya Ruth Anderah
Waliwo ekibiina ekigamba nti ky’ekitaba abasawo ekya Uganda Medical Workers Union ekitutte abaaawo abali mu kwekalakasa mu kooti enkulu , nga bano babalanga kugaana kukola nebadda mu kwekalakaasa .
Bano okusinga bawawabidde akulira abasawo ebekalakaasa wansi wa Uganda Medical Association nga ono yye Dr. Ebuku Ekwaro kko n’omubaka w’abakozi mu parliament Dr. Sam Lyomoki nga bagamba nti bano bebaalangirira okwekalakaasa kuno okumenya amateeka.
Kati bano baagala kooti eyisse ekiwandiiko ekikambwe nga kigaana abakulu bano okudamu okuwabya abasawo nga beefudde abakulembera.
Bano bagamba nti ekibiina kino ekya uganda medical association Dr.Ebuku ky’akulra sikyekyogerera abasawo, kale nga tebalaba nsonga lwaki omulu ono yefuula omunene.