Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro ekiyimiriza okulonda kwe byalo nobukiiko bwbakyala, okubadde kubindabinda, okutuusa ngomusango oguli mu kooti eno guwuliddw amu bujjuvvu.
Kino kidiridde omusomesa James Tweheyo, eyali ssbawandiisi wekitongole kya UNATU okuwaaba ngawakanya ekya, abayizi aba ssiniya 4 neyomukaaga abayinza okumibwa omukisa okulonda nga bali ku masomero.
Omumyuka womuwandiisi wa kooti Sarah Langa awulirizza ensonga za Tweheyo zeyayisa mu banamteeka be aba Caleb Mwesigwa, era wano alamudde nti okulonda tekuyinza kugenda mu maaso awatali kuwulira musango ogwawaabwa mu bujjuvvu.
James Tweheyo ngomusomesa yekubira enduulu mu kooti, nyagala kooti eyimirize akakiiko kebyokulonda ku ntegeka zaabwe okulondesa obukiiko bwe byalo LC 1, 2 nobukiiko bwbakyala.
bannamteeka bonna abakiiko akebyokulonda ne ssbawolerereza wa gavumenti bakirizza nti ddala okulonda kwa Tweheyo kwandibaamu eggumba.
Bino webijidde ngokulonda kwobukiiko bwabakyala kubadde kwa lunnaku lwankya, ate okwabassentebbe be byalo nga 21 omwezi guno byonna kooti byeyimirizza
