Bya Ruth Anderah
Omusango gwomwogezi wa filimu Mary Smart Matovu amanyiddwa nga VJ Junior gwongezeddwayo okutuuka ngennaku zomwezi December 7th 2017.
VJ Junior amakya ga aleero alabiseeko mu maaso ga kooti empya eyatekebwawo okuwlira emisango gyebyempuliziganya nemiralala egyekuusa ku buttoned obwomu ttale ku kooti ya Buganda mu maaso gomulamuzi Samuel Kagoda abadde atauddewo kulwa James Mawanda Eryeemye f.
VJ Junior avunanibwa okumenya tteeka erikuuma ebiyiiye erya copyright olwokuvvunula filimu ezitali zize okuzifunangamu ensimbi.
Mungeri yeemu era avunanibwa okutunda ebifananyi ebyiobuseegu nga talina lukusa
Wano era wabaddewo esmisango emijja egyamuguddwako wabulanga abadde tasobola kugyanukulako, munnamateeka we Luyimbaazi Nalukoola bwasabyeyo akadde batekeyo okwewozaako kwabwe mu bujjuvvu.
Ono avunanibwa wamu ne Geoffrey Bbosa nga bano kigambibwa nti emisango bajizza awo ku Majestic plaza mu Kamapala bwebatundanga ebifananyi ebyobuseegu, mu August owomuka oguwedde.
Bano bakwatibwa ku biragiro bya minister omukwasisa wempisa nobuntu bulamu Fr. Simon Lokodo.