Bya Ruth Anederah
Ekibiina kya FDC kitutte Ssabapolice wa uganda mumbuga z’amateeka Gen Kale Kayihura, nga ono bamulanga kulagira Police n’atataganya kakuyege w’akulonda President w’ekibiina
Bano nga bayita mumubaka we Buhweju Francis Mwijukye , bagenza mu kooti enkulu nga bagamba nti baagala kooti egaane ssabapolice obutadamu kuyingirira kakuyege waabwe agenda mu maaso kubanga FDC kibiina ekiriwo mu mateeka.
Mwijukye agamba nti kino akikoze nga akulira kakuyege w’omu ku bavuganya Patrick Amuriat, era nga akimanyi nti ekibiina kyategeeza police ku nkungan zaabwe, kale nga kibaluma okulaba nga ebeefulidde ate enkungana neziwera.
Yyo kooti tenasalawo lunaku kwegenda kutandika kuwulirirako musango guno.