Bya Damali Mukhaye.
Abakulu okuva mu kibiina kya FDC bawakanyizza ekiteeso kya government eky’okuzaawo abakuuma dembe ab’okubyalo bano abaayitibwanga aba local defense unit oba LDU
Bweyabadde ayogerako ne banamawulire wali ku offce z’ekibiina e Najjanankumbi amyuka ssabawandisii w’ekibiina kino Herold Kaija yagambye nti mukaseera bano webaagoberwe nga bafuuse ekirara mukutta kko n’okubba abantu, kale okubazaawo kigenda kutabula embeera kko n’okwongera kubuzzi bwemisango.
Kati ono ayagala government efube kukuuma bantu nga ekozesa ebitongole ebiriwo, sosi kutondawo bubinja bulala