Bya Ben Jumbe.
Minisita akola ku nsonga z’ebyokwerinda Gen Elly Tumwine avudeyo nanyonyola ensonga lwaki okunonyereza ku misango mu uganda kutera okuwanvuwa nekutwala akadde
Ono okwogera bino yabadde mukukubanya ebirowoozo okwawamu ku by’okwerinda, nagamba nti okuyigga obujulizi obumala okulumika omuntu ku misango eyamaanyi sikyangu, kale nga kino kitera okutwala akadde okukakana nga okukola alipoota nga zino kututte obuudde.
Wabula ono naye ayongedde okukikaatirizza nga government bwerina obusobozi bwonna okuyigga abatigomya banna- uganda, era nga baakukikola.