Bya Shamim Nateebwa

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga awabudde ku nsonga ze nfuga eyamateeka nobutebenkevu nti byebimu ku bigwana okusimbibwako amannyo okulwanyisa obwavu.
Mayiga abadde ayogera ne banamwulire e Mengo, nategeeza nti bino zempagi ezijja okuyamba ebitongole byebyokwerinda nga poliisi okuvunuka embeera eriwo mu gwanga ensangi zino.
Wano akubye omulanga eri gavumenti okutunulira ennyo ate nokussa ekitiibwa mu nfuga eyamateeka, era abantu gyebakiliriizaamu, egwanga lwerijja okutebenkera.
Wano owembuga era asabye abantu babulijjo bave mu mizze egyobutayagala kukola, kubanga gyejivaako ebikolwa byokwagala okutta banaabwe okufuna amangu.