Bya Ruth Anderah.
Eyaliko omubaka wa palamenti ow’eBundibugyo Harrient Ntabazi olwaleero asiimbiddwa mu kooti ya Buganda Road, navunanibwa emisango esatu egy’ekusa kukuginga ebiwandiiko.
Obujulizi obuleeteddwa oludda oluwabi nga lukulembedwamu kalisoliiso Wilberfoce Mutebule bulaga nti wakati wa December 2015 ne October 2016, Ntabazi mubugenderevu yakozesa ebiwandiiko ebya S.6 mu kakiiko k’ebyokulonda, nga agamba nti yabijja mu UNEB nga bino byonna yabikola ayagala kuvuganya kububaka bwa palamenti.
Wabula ye Ntabazi yeeganye emisango gino bwatyo omulamuzi n’amuwa akakalu ka bukadde 5 ezabuliwo.
Kati omulamuzi aguli mu mitambo Esther Nahirya alagidde omukyala ono okuwaayo passport , nga omusango bwegutambula.