Bya Kyeyune Moses
Gavumenti eyanjudde ebbago lye nnongosereza mu tteeka lyomusolo eri palamaneti.
Ebbago lino lyanjuddwa Minister webyensimbi Matia Kasaiaja.
Kino kidiridde gavumenti okwekuba amu mutima, oluvanyuma lwokulajana aokungi olwomusolo ogwasukirira ogubadde gujibwa aku Mobile money neku mikuttu muyunga bantu.
Kati mu nnongosereza gavumenti zeyagala, omusolo ogwa 0.5% gweguba gujibwa aku nsimbi ezsisndikibwa amu nkola eyokumasimu, ate 200 ebya buli lunnaku bisigaleyo ku bakuzesa social media.
Kati omumyuka womukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah alagidde akakiiko ka palamenti akebyensimbi, okwebuuza ekimala ku musolo guno, nga tebanavaayo ne alipoota yaabwe.
Ono alagidde nti buli abakwatibwakao mu gwanga, bawe endowooza zaabwe ate bawulirwe.
Bangi ku bana-Uganda bavuddeyo nebawakanya omusolo guno ogwatandika okukola, nga 1 July.
Ate minister owebyenasimbi Matia Kasaija olwaleero yetondedde palamenti olwokuteeka olukiiko lwe gwanga mu kifananyi ekibbi.
Kino kidiridde omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga ewedde okulagira Kasaija okwotondea olwokwogera ebitakwatagana aku ku musolo gwa mobile money.
Ono yagamba nti omusolo guno palamenti yaguyisiza mu nsobi.
Wabula Kasaija mu kwogera kwe akitadde ku bamawulire nti bamukwata bulala.
Ono agambye nti gwafuuka muzze abakulembeze ngowa America Donald Trump, okwogera ate abamawulire nebawandiika biralala nnyo.
Wabula agambye nti era yabadde yamaze okwetondera akabondo kababaka ba NRM.
Wabula yye akaulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza, ayambalidde Minister Matia Kasaija olwobutatwala mirimu gya palamenti ngekikulu.