Amawulire
Enjuba okulwana n’omwezi- abalambuzi bajja
Bangi beesunga okulaba enjuba ng’erwana n’omwezi.
Tekijja kukoma ku kunyumirwa, wabula n’eggwanga lyakuganyulwaamu buwanana.
Abalambuzi abasoba mu mitwalo 3 beebasuubirwa mu ggwanga mu Uganda nga bano bagenda kuleka emisolo
Omu ku bakulira kkampuni eyingiza abalambuzi eya Great African Safaris Amos Wekesa agamba nti Uganda yamukisa okuba nti mu nsi yonna yalondedwa ng’ekifo ekigenda okulabibwaamu ensitaano eno.
Wekesa agamba nti ate abalala bakyajja n’akunga ne bannayuganda obutayitibwaako kakisa kano kubanga kino tekirabikarabika