Ebyobulamu

Sikaani mu ddwaliro e Masaka efudde

Ali Mivule

October 22nd, 2013

No comments

Masaka

Ekyuuma ekikola sikaani mu ddwaliro e Masaka kifudde.

Ekyuuma kino tekikyasobola kufulumya bifananyi era nga tekisobola kukolebwa kale ng’ekipya kirina okugulwa.

Akulira eddwaliro lino Eleazar Mugisha agamba nti bagezezzaako okulaba oba ekyuuma kino kisobola okuddabirizibwa naye byonna kusiiwa nsaano ku mazzi.

Eddwaliro lye Masaka ssi lyelyokka eritalina bikola nga n’amalala mangi gakaaba.

Minisitule y’ebyobulamu yavaayo dda nga bw’emanyi ekizibu kino era nga yamala okukuba pulaani egendereddwaamu okulaba nti amalwaliro gonna gaddabirizibwa