Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko lwaba minister olwa cabinet luyisizza enkola egenda okugobererwa mu kulwanyisa enguzi kyebatuumye Zero Tolerance to Corruption 2018, nekigendererwa okumalaow enguzi mu gwanga.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku Media Center mu Kampala ku byatukiddwako mu lutuula lwaba minister akawungeezi akayise omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo agambye nti kyasaliddwawo nti ebitongole byonna ebirwanyisa obuli bwenguzi byakukolera wamu.
Agambye nti alipoota ezobuli bwenguzi, okukozesa obubi wofiisi nebiralala zeyongedde nnyo nga baazudde nti waliwo obwetaavu ebitongole okugatta amanyi gaabyo mu lutalo luino.
Kati ebitongole okuli kalisoliiso wa gavumenti, poliisi, akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya yensimbi, nebitongole bi nakyewa byakutambuliranga wamu.