Bya Samuel Ssebuliba.
Ekitogole ky’ensi yonna ekikola ku by’abaana ekya UNICEF kiriko alipoota gyekikoze nga eno eraze nga omwaka 2018 bwekukyasibnze okubeera ogw’obulabe eri abaana munsi yonna naddala abali mu bitundu omuli entalo.
Alipoota eno eraga nti abakulembeze munsi yonna tebafudeeyo ku nsonga z’abaana , era nga bangi battibwa mu ntalo, bayingizibwa amajje, abawala basobezebwako kko n’ebirara bingi, wabula nga mpaawo afaayo.
Manuel Fontaine nga ono ye Director akola ku bigwa tebiraze agamba nti ebanga lino ely’emyezi 12 egyakayita ku mwaka guno, omusaayi gwabaana mungi guyisse, songa abalala bagidwako edembe kyabwe, kyoka nga ensi esirise
Alipoota eno esonze ku mawanga nga Congo, ewali abaana abasoba mu bukadde 4.2 abafe enjala nga ensonga zivide kuntalo ezitaggwa, wano mu Chad amasomero1,041 gagalwa , kino nekikosa abaana abasoba mu 440,000.
Mu Sudan abantu abasoba mu bukadde 6 bakyali mukubundabunda,era enjala ebatta, songa yo mu Somalia,abaana abasoba mu 1,800 bayingizibwa amajje naddala agabatujju, songa 1,278 mpaawo amanyi gyebali.
Kati UNICEF eyagala abakulembeze bonna basitukiremu okutaasa abaana abaliisibwa akakanja, nokutibwa.