Amawulire
Kooti y’akulamula oba Kyaligonza anawozesebwa
Bya Ivan Ssenabulya
Omulamuzi wa kkooti ento e Mukono Juliet Hatanga ataddewo olwanga 27/6/2019 okulamula obanga omusango oguvunanibwa munamagye eyawumula omubaka wa Uganda e Burundi Rtd Maj Gen Matayo Kyaligonza n’abakumi be okuli John Okurut ne Bushidiki Peter, gunagenda mu maaso.
Bano bavunanibwa okukuba omusirikale wa traffic Sgt. Esther Namaganda mu Feb wali mu Masanganzira ge Seeta Mukono.
Omulamuzi okusalawo bwati kyaddiridde Kyaligonza ne
banne obutalabikako mu kkooti nga banamateeka ba Namaganda nga bakulebeddwamu Micheal Aboneka okulambira nti Kyaligonza ne bane okuwozesebwa mu kooti yamajje tekijawo musango guno oguli mun kooti eya bulijjo.
Yye munamateeka wa Kyaligonza David Balondemu abadde akalambidde nti kkooti zino zirina okukwatagana, obutavunaana muntu we mu kooti bbiri, ate emisango gyegimu.