Amawulire

Enjuki zisse omwana ow’emyaka 5

Enjuki zisse omwana ow’emyaka 5

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Enjuki zikakanye ku mwana ow’emyaka 5 nezimutta, nezirumya n’omukazi omukadde owemyaka 54 mu district ye Rakai.

Omugenzi ye Derrick Wangi ngabadde mutabano wa Geoffrey Lukyamuzi atenga namukade ye Namusisi Bantariza abatuuze ku kyalo Kyasimbi mu gombolola ye Nabigasa e Rakai.

Okusinziira ku taata w’omwana ono enjuki tezitegerekese gyezinawuuse okulumba omwana okumulumalula.

Kati ssentebbe we kyalo Richard Mugagga alabudde, abantu okubeera abegenderza nti enjukizi zitera nnyo okutta abantu naddala mu biseera bino ebyenkuba.