Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ekutte omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu e Mulago, bwabadde ayokere ku ktebbe kyaba mbega e Kibuli.
Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi wine poliisi emuyimirizza, ngekubye nomukka ogubalagala mu bawagizi be ababadde beyongedde okumugoberera, nokulekanira waggulu nti People Power.
Kati atwaliddwa ku poliisi e Nagalama eranga eno nayo abantu bagenze bawondera.
Omubaka Kyagulanyi yayitibwa okukola statemimenti ku misango gyokukuma omliro mu bantu nokukuba olukungaana olumenya amateeka.
Bino byaliwo ku Easter Monday bweyali agenda e Busabala, poliisi gyeyali eyimirizza ekivvulu kye.