Abavuganya gavumenti bawakanyizza ekyokutandawo amasaza amalala 39
Kiddiridde minisita wa gavumenti ez’ebitundu okulangirira nti amasaza gano gassibwa dda mu mbalirira era nga tegalina byanfuna byegagenda kukosa.
Kati minisita wa gavumenti z’ebitundu mu gavumenti erinze obuyinza Betty Nambooze agamba nti minisita talina buyinza kussaawo masaza gano nga tegali na mu tteeka lya gavumenti ez’ebitundu.
Nambooze ategeezezza ng’ensonga eno bw’agenda okugitwala mu kkooti ssinga palamenti emala n’ekiyisaamu.
Nambooze agamba nti okutondawo amasaza gano mu biseera by’akalulu kigendereddwaamu kuyiggirako kalulu eri bannakibiina kya NRM.