Skip to content Skip to footer

25 bafiiridde mu bulumbaganyi

Abantu 25 bafiridde mu bulumbanganyi obukoleddwa ku muzikiti mu ggwanga lya Syria.

Ekitongole kya Bungereza ekirwanirira edembe ly’obuntu mu ggwanga lya Syria kitegeezezza nti waliwo abantu abalala abawerako abalumiziddwa mu bulumbaganyi buno.

Obulumbaganyi buno bukoleddwa ng’abasiramu bagenze mu muzikiti guno okusibulukuka.

Wabula negyebuli kati abakoze obulumbaganyi buno tebanategerekeka.

Leave a comment

0.0/5