Abatuuze ku kyalo Sakabusolo mu gombolola ye Buwama mu disitulikiti ye Mpigi bazibye oluguudo oluva e Butambala okudda e Mpigi nga bagamba nti abakulembeze ku gombolola balemereddwa okulukola.
Abasubuzi abatwala ebyamaguzi mu butale omuli Kamengo, Mpigi ne Buwama beebasinze okukosebwa.
Abatuuze bagamba nti oluguudo luno lumaze ebbanga nga luyisibwa e gombolola ye Buwama kyokka nga negyebuli kati terukolebwanga.
Wabula ye Ssentebe w’egombolola ye Buwama Frank Kasule bwetumukubidde amasimu agambye nti abatuuze bagira bagenda mu maaso n’okwekalakasa kubanga ye ekyali mu nimiro anoga mwanyi.