Poliisi eri ku muyiggo gwa munnamateeka omututumufu mu kampala Bob Kasango.
Kasango avunaanibwa kwezibika obuwumbi 15
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga sagambye nti Kasango yayimbuddwa poliisi y’oku luguudo lwe Kira era nga yalina okuddayo ku poliisi kyokka nga guno gujwa, talabikako
Enanga agamba nti ono alina okunyonyola ku mayitire g’ensimbi zino ezamuweebwa gavumenti ku misango gy’abakozi ba gavumenti abawummula abasoba mu 6000.