Amawulire
Amawanga 11 gaweddemu omusujja gwensiri
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole kyebyobulamu munsi yonna, World Health Organization baliko amawanga 11 gebalanagirirdde nti batuuse ku buwnaguzi, nga balinnye omusujja gwensiri ku nfeete.
WHO yalangiridde Algeria, Argentina, Armenia, El Salvador, Kyrgyzstan, Morocco, Paraguay, Sri Lanka, Turkmenistan, United Arab Emirates ne Uzbekistan.
Amawanga gano bagambye nti tegakyalimu musujja, wabulanga kisobose mu bbanga lya myaka 20 okuyita mu kawefube owenjawulo.
Bino byajidde mu kiwandiiko WHO kyebafulumizza, olunnaku lwe ggulo ensi bweyabadde yegasse awamu okukuza olunnaku olwatekebwawo okwefumintiriza ku musujja gwensiri.
Wabula bagambye nti amawanga agalwanyisizza omusujja gwensiri, bakisobodde okuyita mu kuteeka essira ku buyambi obwomunda mu gwanga.
Alipoota ya WHO eyomwaka 2019, yalaga nti abantu obukadde 229 bebalwala aomusujja gwensiri, ngemitwalo 40 bebfa mu mawanga 87.
Okusinga abaana wansi wemyaka 5 bebafa omusujja, nga bali bakola 2/3.
Okusinziira ku alipoota eya Malaria Atlas Project, omwaka gwa 2018 wegwatukira, Uganda yali ekwata kifo kyakusattu mu mawang agasinga okuberamu omusujja gwensiri.