ByaDmalie Mukhaye
Ababak ba palamenti abasoba mu 500 abagenda okukiika mu palamenti eyomuylundi ogwe 11, bagenda kutandika okulayira olwaleero.
Omukolo guno gugenda kukulungula ennaku 4.
Abadde sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga, wiiki ewedde yalabudde ababaka abalonde okwewala okuleeta abantu abangi ku mukolo.
Okusinziira ku Kadaga, abanatu bataono bebetagibwa okubawerkerako okusobola okugoberera amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Okusinziira ku ntekateeka eyafulumizddwa kalaani wa palamenti, buli mubaka tatakeddwa okuleeta banatu basukka 3 abamauwerekerako.
Olwaleero abababaka 132 bebagenda okulayira.
Palamenti eyomulundi ogwe 11 egenda kuberamu omugatte ababaka 529 okwawukana ku babaka 426 ababadde mu palamenti eye 10.