Bya Ivan Ssenabulya
Abasuubuzi abegatira mu kibiina omwegatira abasuubuzi bomu kampala ekya Kampala City Traders Association,KACITA, bawanjagidde ekitongole ekiwooza ekya URA nga Bagala kyongezeyo obudde bwebalina okwangizako ebikwata kunyingiza yabwe mu mwaka gwe byensimbi gwetukomekereza.
URA yali yateekawo ennaku zomwezi 30th June nga nsalesale okufunirako ebiwandiiko byabwe.
Mu kwogerako ne Dembe KFM, adukanya emirimu gye kibiina kya KACITA, Abel Mwesigye, agamba nti tebalina ngeri gye bayinza okukunganyamu ebiwandiiko bino nga bali ku muggalo.
Wabula ye omwogezi wa URA Ian Rumanyika, ategezeza nti tebanafuna kiwandiiko kya kwemulugunya okuva eri abasuubuzi bano naye nga bwebanakifuna bakubanukula okusinzira kunsonga zabwe.