Bya Prossy Kisakye,
Abamu ku baminisita mu gavumenti eyékisikirize basabye palamenti eyitibwe bunambiro okuva mu luwumula basobole okuwa endowooza zabwe kungeri gavt gyerina okukwatamu ensonga ze kirwadde kya covid-19.
Kino kidiridde olukiiko lwa baminisita okuyisa emitwalo 10 eri buli maka mu bibuga ne municipaali agakosedwa ne mbeera eyomuggalo ogwajja ne kirwadde kya
Baminisita abekisikirize nga bakulembedwamu The minisita avunanyizibwa ku byamawulire, Joyce Bagala bagambye nti waliwo abantu abakosedwa enyo mu mbeera eno kyokka nga muntekateeka eyokugaba obuyambi balekedwa bbali nga mjuno mulimu bannabyamizannyo, abamasomero na bali mu buyiiya na balala.
Bagala ayagala gavt era eveeyo nennambika mu kugema bannauganda ekirwadde kya covid nokuleka abakulembeze be bitundu okulungamya ku balina okufuna ensimbi zino.
Ate ye minisita owekisikirize avunanyizibwa ku nsonga zamawanga agali mu buvanjuba bwa semazinga Africa, Gilbert Oulanya alaze obwetaavu obwa sipiika wa palamenti okuyita ababaka bateese kunsonga ze kirwadde kuba singa tebalungamya kunsonga zino gavt yandizikwata mu ngeri yagadibe ngalye.