Bya Barbra Nalweyiso
Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mityana, balangiridde nti beddizza obuyinza okuziika abantu bonna abafudde ssenyiga omukambwe COVID-19.
Kino bagamba nti kivudde mu mwendo gwabantu abafa ogweyongedde, atenga waliwo nokuboola abafu.
Ku lunnaku lwa Sunday, waliwo aba famile abasuula omulwambo gwomukadde Eriyazaali Kalule ku ddwaliro ekkulu e Mityana.
Omugenzi yali afudde COVID-19 wabula abatwala ebyobulamu nga bayambibwako poliisi omulambo bagutwala e Kalangaalo, nebaguziika mu bukuumi.
Kati akulira ebyamwulire ku disitulikiti ye Mityana, Edward Muganga agambye nti baliko ekibinja kyabakugu baabwe bebatendese abagenda okukola omulimu gwokuziika.