Bya Ndhaye Moses
Abakugu mu byobulamu banyonyodde lwaki abamu ku bantu wewaawo abagemeddwa ssenyiga omukambwe era bakwatibwa akakwuka ka Corona virus.
Okusinziira ku Dr Daniel Tumwine, akulira eddwaliro lyabaana erya Children’s Clinic Naalya eranga mukugu mu byokugema, kitwala emyezi 3 emibiri egimu okutukamu eddagala lyonna eribeera likubiddwa omuntu.
Ono agamba nti kiseera ekyo ngeddagala terinabuna mubiir gwonna, akawuka kabeera kasobola okukwata omuntu oyo era nekaddamu okumukosa, wabula asabye abantu mu mbeera yonna okusigal nga bagoberera amateeka agokwetangira.
Agambye nti nabagemeddwa kikulu nnyo, okwambala masiki, okwewa amabanga nebirala.
Doozi esooka agambye nti kitwala ennaku 10 ku 14 okubuna omubiri okuguwa obukuumi.