Amawulire

Abakulembeze bé bitundu basanye okunyigibwa mu lutalo lwa Covid-19

Abakulembeze bé bitundu basanye okunyigibwa mu lutalo lwa Covid-19

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Minisita wa gavumenti ezebitundu kuludda oluvuganya era nga ye mubaka omukyaala akikirira district ye Wakiso mulukiiko olukulu olwegwanga Betty Ethel Naluyima awanjagidde governemt okuvaayo bateeke ba ssentebe bamagombolola,town council ,divisions ne ba mayors wamu ne bassentebe bama district kumwanjo okusobola okulwanyisa ekirwadde kya ssenyoga omukambwe.

Hon Naluyima agamba nti ba ssentebe wamu ne ba mayor basulidwa wabali munsonga zinno nga bulikintu bakikwasa ba RDCs kyagambye nti gandigabanyiza obuyinza okusobola okuyamba abantu.Naluyima ayongeddeko nagamba nti ne bassentebe betaaga okufibwaako kunsonga zinno nga babawa ebyetaago okusobola okukola emirimu obulungi kubanga bebasinga okutuuka kubantu.

Mungeri yeemu Naluyima asabye president Museveni okuyamba bana uGnada ngategeeza ebitongole ebyenjawulo okusala kumiwendo gyebisolooza kubantu nga amazzi,yaka basobole okuyita obulungi mukiseera kinno.

Naluyima bwatuuse kunsonga yokuwandiika abantu abanafuna sente government zesubiza asabye baleme kutekamu byabufuzi ngabalowooza nti aboludda oluvuganya tebalina kufuna sente.