Bya Gertrude Mutyaba
Akulira eddwaliro lya Butenga Health Centre IV mu district ye Bukomansimbi Dr Ponsiano Mwebe, ategeezezza nga eddwaliro mu kiseera kino bwerifuna abalwadde ba Covid bangi kyokka nga ebikozesebwa bikyali bitono.
Dr Mwebe agamba nti mu kiseera kino balina Oxygen cylinder 9 zokka nga ate omukka balina kugunona Masaka ekibawa obuzibu mu mpeereza y’emirimu.
Dr Mwebe agamba nti wakiri buli ward mu ddwaliro ez’omugaso zaandibaddemu oxygen kyokka nga e Butenga tekisoboka.
Dr Mwebe era asabye eddwaliro lino lisuumusubwe okutuuka ku mutendera gwe ddwaliro eddene olw’omuwendo gw’abantu abangi bebaweereza.