Skip to content Skip to footer

Emmundu ezakozesebwa okutta Kawesi zizuuse

Bya Juliet Nalwooga,

Amyuka ssabapoliisi Paul Lokech, ategezeza nga emmundu ezakozesebwa mu kutemula eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Felix Kaweesi ne Maj. Mohammed Kiggundu zizuliddwa.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, Lokech agambye nti emmundu 2 ezekika kya SMG ne pisito byazuuliddwa ku apartment yomwami Juma Saidi, era ngóno yómu kubagambibwa okuba nti benyigira mu kwagala okumiza General Katumba Wamala omusu.

Said yasangibwa mu makage e Namuwongo emmundu ezagibwa munjuye oluvanyuma lwokwekebejebwa kyazuuse nti zezakozesebwa mu kutemula kawesi ne kigundu.

Wabula obutemu obwakolebwa ku bantu bano Lokech agamba nti bwalukibwa akabondo ka bantu abalina enkolagana na bayekera ba ADF abali mu ggwanga erya DRC.

Anyonyodde nti baliko abantu bebakyawenja okuli Sheik Abudin Hubanda Taheel Bukenya agambibwa okuba nti yakulira akabondo kano ne munne amanyidwako nga Kanaabe.

Leave a comment

0.0/5