Amawulire
Aba Boda boda 11% bebalina pamiti mu Kampala
Bya Shabibah Nakirijja
Abagoba ba boda boda 11% bokka bebalina pamiti ku nguudo mu Kampala.
Bino byajidde mu alipoota eyarubiridde okulongoosa mbeera aba boda mwebakolera, nokubaterawo obutebenkevu ku nguuso.
Okunonyereza kwakoleddwa abettendekero lye Makerere n poliisi ya Uganda wamu ne minisitule yebyentambula, nga kwakolebwa wakati wa February ne June omwaka guno.
Kati okuvuga nga ssi bakugu abakaksiddwa kibateeka mu kabi, era kinokoddwayo ngemu ku bivaako obvubenje ku nguudo.
Okunonyereza kwakolebwa mu bitundu okuli Kawempe, Makindye, Rubaga ne Nakawa.
Betty Kwagala, nga ye munonyereza omukulu agambye nti batuuka kuba boda boda 785 naddala abo abaalinga bakattikula abasabaze era abasing nga bagamba nti tebalina pamiti.
Abasing obutabeera nazo bakiteeka ku bisale ebibasabibwa, byebatayinza emitwalo 33 eza pamiyti eyemyaka 3.
Kati bawabudde gavumenti ebereko byetereeza ku nsonga eno, ngemu kugeri yokulwanyisa obubenje.