Amawulire
Ababundabunda okuva e Congo abaayingidde eggwanga eggulo bazze ewabwe
Bya Benjamin Jumbe,
Abasinga obungi ku bannansi beggwanga erya DRC abayingidde eggwanga lino olunaku lwegggulo nga banonya obubudamo bazeeyo ewabwe.
Olunaku lwegulo abanonyi bobubudamo okuva e Congo beyiye mu ggwanga lino nga bayitira ku nsalo e kisoro bunagana olwokulwanagana obwabaluseewo mu bitundu byabwe
Okusinzira ku mwogezi wa Uganda red cross Irene Nakasiita, leero abakulembeze okuva e Congo bazze ne bogera na bantu babwe ne babagumya nti embeera gavt yagikakanyiza basobola okudda ewabwe era abasing bazeeyo