Skip to content Skip to footer

39 basimatuse okufa Baasi bwekutte omuliro e Kampiringisa

Bya BRIAN ADAMS KESIIME

Abasabaze abawera 39 basimatuse okufiira ku kabenje ka baasi mwebabadde batambulira bwekutte omuliro wali mu bitundu ebye Kampiringisa mu Mpigi Town Council kuluguudo oluva e Kampala-Masaka.

Omuliro guno kigambibwa nti gutandikidde mu buleeki zemotoka ez’emabega mu baasi ya kampuni Gateway ebadde edda e kabale.

Abasabaze bonna basobodde okutaasibwa dereva bwabalagidde okugyamuka amangu wabula emigugu gyabwe tegisobodde kutaasibwa.

Omu kubasimatuse akabenje atubuulidde nti ekizibu kibadde ku buleeki era dereva bwajkirabye nayimiriza baasi e Kampringisa nabalagira okufuluma.

Bino okubaawo nga wakayita ssabaiiti 2 omuntu agambibwa okuba omutujju bweyetulisizako boomu mu baasi ku luguudo lwe masaka era nayo yali edda Kabale.

Leave a comment

0.0/5