Amawulire

Poliisi esse ekitiibwa mu kkooti

Ali Mivule

January 7th, 2014

No comments

Lukwago 3

Gavumenti esabiddwa okussa ekitiibwa mu kusalawo kwa kooti ku kya Erias Lukwago okusigala nga Loodi Meeya.

Kino kiddiridde poliisi okulinya eggere mu lukungaana Lukwago lweyabadde alina okukuba olunaku lwajjo  ng’etegeeza nga ssabawolereza wa gavumenti Peter Nyombi bweyabawabudde nga Lukwago bwatakyali mukulembeze wa kampala.

Omubaka wa Rubaga North, Moses Kasibante agamba nti poliisi teyinza kwesigama ku ntaputa ya ssabawolereza ono kubanga naye alina omukono mu nsonga za Lukwago okugobwa ba kansala.

Agamba nti kati bawandikidde poliisi nga bagitegeza ku lukungaana lwaabwe olulala ku lunaku olw’okuna era nga tebasuubira kutataganyizibwa