Amawulire
Poliisi ezinze amaka ga meeya
Poliisi yeebulunguludde amaka ga loodi meeya Erias Lukwago.
Kino kigendereddwaamu kumutangira kukuba lukungaana e Kawempe ng’eno nno olukiiko olwasooka okukubwaayo lwagwa butaka.
Kigambibwa okuba nga poliisi eno ezze n’ekiwandiiko ekitegeeza meeya ng’ekifo w’abadde agenda okukuba olukungaana nanyini kyo bw’abadde tabawadde lukusa era nga yasabye obukuumi bw apoliisi.
Wabula yadde guno bweguli, Lukwago agamba nti tewali kigenda kumulemesa kuuba lukungaana mu kitundu kyekimu kubanga ekisaawe ekyogerwaako kya KCCA