Skip to content Skip to footer

Akakiiko k’eby’okulonda kakoze enkyukakyuka mu nakku z’okusunsula abanavuganya ku ntebe ya President

By Mike Sebalu
Akakiiko kébyókulonda aka Electoral Commission (EC) kalangiridde enkyukakyuka mu nnaku ezókusunsulirako abanegwanyiza okuvuganya ku ntebe yómukulembeze wéggwanga mu kulonda okwa bonna okwa 2026.
Okusooka, okusunsula bano kwali kwakubaawo nga 2-3 October 2025 wabula nga kati bakusembezza okutuuka nga 23-24 September 2025.
Akulira akakiiko akébyókulonda Omulamuzi Simon Byabakama bino abitegeezezza bannamawulire ku kitebe kyákakiiko mu Kampala.
“Mu byetwagala tukoleko mwemuli okufulumya obukonge bwákalulu obwókugezesa endabika yóbwo obunakozesebwa mu kulonda okwa bonna, okukkanya ku ngeri abanavuganya gyebanawenjamu akalulu, gattako nókuteeka emikono ku kakalu kókugobelera amateeka gonna agassibwawo akakiiko kébyókulonda nga bawenja akalulu nébilala,” Byabakama bweyategeezezza.
Ayongeddeko nti oluvanyuma lwókwetegereza ebyo byonna, ngákakiiko kwekusalawo bakolemu enkyuka kyuka okusobola okuwa abesimbyewo obudde obumala okunoonya akalulu.
Byabakama era alangiridde nga okusunsulamu abanavuganya ku bifo ebyénjawulo mu zi gavumenti ezébitundu bwekujja okutandika nga 3-12 September, 2025.
Okusunsula abanavuganya ku kifo kyómubaka mu palamenti kwo kwakubeerawo wakati wa 16-17 September, 2025.
Mu ngeri yemu, Sentebe wákakiiko era alangiridde ennaku zókuwenja akalulu okutuukira ddala ku abo abesimbyewo ku ntebe yóbwa president.
“Okuwenja akalulu eri abesimbyewo ku bwa president kwakutandika nga 4 omweezi ogwé 10, 2025 okutuuka nga 12 January 2026,”
Agasseeko nga okuwenja akalulu eri ababaka ba parliament bwekujja okutandika nga 23 September okutuuka nga 12 January 2026.
Bbo abanavuganya ku bifo byóbukulembeze ku zi gavumenti ezébitundu nábantu abaliko obulemu okuwenja akalulu bakukutandika nga 13th September 2025 okutuuka 12th January 2026.

Photo by Mike Sebalu

Leave a comment