Ebyobulamu
Ebikwekweto ku bulwaliro
Ekitongole kya KCCA Kyakukwatagana n’abakola ku byobulamu wano mu kampala bakole ebikwekweto ku basawo abafere n’abatunzi b’eddagala abatatukagana na mutindo.
Ebikwekweto bino byakutandika mu wiiki 2 nga bakutuuka mu malwaliro ga gavumenti n’agobwananyini.
Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr Daniel okello agamba Kampala alimu obulwaliro obutonotono obuli eyo mu 1500 nga bwetaaga okulondoolwa okulaba engeri gyebukolamu emirimu gyaabwo.
Mu bikwekweto bino bakutunulira ebbanga eddagala lyerimaze mu malwaliro gano, obuyigirize bwabagakolamu n’ebyobuyonjo.