Amawulire

Etteeka ku buseegu liyise- Teri kwambala nkunamyo

Ali Mivule

February 18th, 2014

No comments

MINISKIRT

Eteeka ku buseegu liyisiddwa.

Omukulembeze w’eggwanga yalitaddeko dda omukono nga kati abanasasanya obuseegu bakukangavulwa.

Kati anakwatibwa nga afulumya oba okwetaba  mu kusaasanya ebintu by’obuseegu wakusibwa emyaka 10 oba okusasula engassi ya bukadde 10.

Ate bbo abakozesa obutambi n’ebifananayi by’obuseegu nga bateekamu abaana bakusibwa emyaka 15 oba okusasula engassi yabukadde 14.

Wansi w’eteeka lyerimu omuntu anasingisibwa ogw’okwambala mungeri eyesitaza gamba nga abambala mini wakusibwa emyaka 10 oba okusasula obukadde bwezakuno 10.

Bwabadde ayogerako eri banamawulire minister w’empisa n’obuntubulamu , Father Simon Lokodo ategezezza nga bwewagenda okutekebwawo akakiiko akagenda okusanyawo ebintu by’obuseegu byonna saako nokusomesa abantu ebibi ebiva mu buseegu saako n’okubudabuda abo abakoseddwa