Skip to content Skip to footer

Police yakunonyereza kunkola ya ISO.

Bya ssebuliba samuel

Police etegeezeza nga bwegenda okutandika okunonyereza ku bigambibwa nti ekitongole ekiketera munda mu gwanga ekya ISO kyebade kiwambye omukyala munsi w’egwanga elya congo nga ono abadde amaze anaku 5 mubuwambe.

Omukyala ono Nganga Bibiche Bola kigambibwa nti yawambibwa  nga 23rd, Feb 2018  okuva mu makaage wano e Konge, Makindye, kyoka olunaku olw’egulo yakomyewo nga talina kisago kyonna.

Ayogerera police mu gwanga Emilian Kayima agamba nti omukyala ono yabategeezeza nti yawambibwa abasajja baatamanyi wabula nga bali mungoye z’amagajje, kyoka oluvanyuma yakizudde nga baali ba ISO .

Kati Kayima ategeezeza nga police bwegenda okutwala obuvunanyizibwa enonyereza kubigambibwa nti ISO yeyabade ewambye omukazi ono, ko n’okumalawo okutya mubannayuganda.

 

 

Leave a comment

0.0/5