Amawulire
Omupoliisi attiddwa mu bubbi
Poliisi ekakasizza okuttibwa kwa musajja waayo mu bubbi
Dan Kato attiddwa abantu abakaaye obugo oluvanyuma lw’okumusanga ng’amaze okutta omusajja gw’abadde agezaako okubbako emmotoka.
Kato ono ne munne atolose bapangisizza omusajja ono abadde avuga mmotoka kika kya Noah kyokka nga bwebatuuse mu kkubo nebamusiba omuguwa mu bulago mu kumutuga.
Mu kwerwanako, emmotoka evudde ku kkubo n’egwa kyokka nga wabaddewo ababadde bava emabega w’emmotoka eno mu baasi kwekuvaamu nebakwata Kato nebamukuba emiggo egimusse
Owmogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Judith Nabakooba akakasizza amawulire gano wabula n’ategeeza nga Kato bw’abadde yagobwa mu poliisi.
Omusajja ono yoomu abadde yayimbuddwa olunaku lwajjo oluvanyuma lw’okukwatibwa lubona ng’alya enguzi okuva ku mugoba w’emmotoka.