Amawulire

Tujja kulaga ensasaanya

Ali Mivule

February 22nd, 2014

No comments

Katumba new

Ab’amaggye g’eggwanga bagamba nti bakunyonyola ku buli kikumi kyebakozesaa mu lutalo oluli mu ggwanga lya South Sudan.

Kino kizze ng’amaggye gano gasaba obuwumbi 120 okuyambako mu bikwekweto e South Sudan

Omuduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala agamba nti amaggye galumbiddwa emirundi mingi olw’okweremeza mu ggwanga lya South Sudan kyokka nga buli kimu kyakunyonyolwa

Katumba era agambye nti basanyufu nti basobodde okutaasa obulamu bw’abantu abawera kyebaatandikoze ssinga baali wano