Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi etandise okunonyereza ku kabenje akafiriddemu omuntu, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Akabaneje kano kabaddemu mmotoka kika kya premio namba UAX 056/Q ne pikipiki namba UDY 047/E, nga kagudde Banda, mu budde obwokumakya.
Okusonziira ku mwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano, Patrick Onyango mmotoka evudde ku kkubo nag yewagaanya ebbali, netomera owa Boda Boda nafirawo, atenga omusabaze gwabadde aweese, addusiddwa mu ddwaliro e Naguru.