Bya Getrude Mutyaba.
Mu district ye Lwengo agavaayo galaga nga abakulembeze beeno bwebali mu bweraliikirivu olw’ekirwadde kya mulangira okweyongera mu kitundu kyeno.
Buno obwerakikirivu bulagiddwa omulambuzi w’ebyobulamu e Lwengo Robert Mugabi bwabadde ayogerako ne banamawulire.
Ono agamba nti ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko ebyalo nga Kakoma, Ndagwe.
Wabula ono agamba nti guno omutawaana guvudde ku bazadde abataagala kutwala baana kubagemesa mubudde okukakana nga ballwadde.