Bya Getrude Mutyaba.
Poliisi e Kyotera eri ku muyiggo gw’abatemu abaalumbye omukadde ow’emyaka 60 nebamutta.
Omugenzi ategeerekese nga Namwandu Maria Nabukeera Njala omutuuze w’eKifuuta mu Gombolola ye Kabira mu district ye Kyotera abatemu bwebamuswamye ekiro bwabadde afulumye okwetawuluzaako nebamutema ku mutwe.
Ayogerera poliisi mu bitundu bye Masaka Lameck Kigozi agamba nti omugenzi addusiddwa mu ddwaliro wabula nassa omukka gwe ogusembayo mu ddwaliro e Masaka.