Bya Samuel Ssebuliba
Omubaka w’abavubuka mu masekati ga Buganda Sarah Babirye kityo ategeezeza nga bwawagira ekya government okukyusa ensimbi z’abavubuka zive mu ministry ekola kikula ky’abantu zidde mu maka g’omukulembeze we gwanga.
Bino bigidde mukadde nga Alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya government yakalaga nga wakati wa 2015-2017, ensimbi ezaalina okugenda mu bavubuka obukadde 527 bwezaabula.
Ono agamba nti abakulu ku district ensimbi babade bazigabira banaabwe, kale nga okuzitwala mu state house osanga kinaayamba