Skip to content Skip to footer

Abasumba b’abalokole bawakanyiza abateeka amagya.

Bya Barbara Nalweyiso.

Abasumba b’abalokole mu district ey’emityana basimbide ekuli entekateka ya government okubaga amateeeka agafuga abasumba babalokole kwosa n’amakanisa okutwaliza awamu.

Kinajukirwa nti minister akola ku by’empisa Father Simon Lokodo yagamba nti omuntu okufuuka omusumba yandibade nga asooka kuyitako mutendekero , era nga agwana abeere e degree.

Kati bbo abasumba okuva mu district ey’emityana bagamba nti sibakuwagira ntekateka eno era nebategeeza nga bwewaliwo abantu abatagariza kanisa zino kukulakulana.

Omusumba Steven kalangwa owa divine gospel mission agamba nti government terina kubasaba musolo kubanga bo bayamba bantu bangi abatalina baasirizi, ate nga tebabasaba nsimbi.

 

Leave a comment

0.0/5