Bya Ruth Andera.
Waliwo Omusajja ow’emyaka 28 asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala nalumirizibwa okudda ku kaana akato akalenzi n’akasobyako
Ssebadawo Mathias asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Steven Mubiru, omwana agambibwa okusobezebwako n’amulumiriza.
Omwana omulenzi agamba nti Ssebadawo nga yali mukwano gwa mugandawe era nga olumu yasulanga mu maka gabwe yamusobyako emirundi 3 mukiro nga muganda we yebase.
Kigambibwa Ssebadawo omusango yaguzza mu October wa 2016 e Wabigalo Makindye mu Kampala.E
Kati wakudizibwa mu kkooti nga January 14th omusango gudemu okuwulirwa.