Bya Samuel Ssebuliba.
Ministry ekola ku by’enjigiriza efulumiza Calendar y’omwaka gw’ebyenjigiriiza, nga eno yeegenda okulambika engeri abaana gyebagenda okusomamu.
Okusinziira ku Calendar eno olusoma olusooka lwakutandika nga 4th February lukome nga 3rd may,olusoma olw’okubiri lwakutandika nga 27 may 2019 lukomekerezebwe nga 23rd August, songa olusoma olusembayo lwakutandika nga 16th September lukome nga 29th November.
Ekiwandiiko ekivudde ew’omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule ekola ku by’enjigiriza Alex Kakooza,kiraze nga okusunsulamu abayizi abagenda mu S.1 kwakubaawo wakati wa 24th ne 25th January, songa okusunsulamu abagenda mu S.5 kwakubaawo wakati wa 14th to 15th February.
Ono agamba nti kuluno minisitule egenda kubeera nkambwe nyo ku nsonga y’obudde, kale nga abaana balina okubeera mu bibiina okutandika ne saawa biri ez’okumakya okutuusa ku saawa kumi neemu ez’olweggulo.