Bya Sam Ssebuliba
Abasomesa ku ttendekero lye Kyambogo olwaleero tebalabiseeko mu bibiina, ngabasomesa bonna mu matendekero aga waggulu bwebalaliika okutuusa nga gavumenti ebasasudde ensimbi zaabwe ezenyongereza zebabanja.
Ssentebbe wabsomesa be Kyambogo Dr Grace Lubaale gyebuvuddeko yalagira abasomesa, obutajja ku mirimu, nga nakawukengeezi kano atubuliidde nti akediimo kaabwe kakugenda mu maaso.
Wabula omumyuka wa ssnekulu e Kyambogo Prof. Elli Katunguka, atugambye nti asisinkanye abasomesa bano okubabuliira gavumenti wetuuse ku nsonga ze banja lyabwe.
Agambye nti bano bagenda kubasasula obutasukka wiiki eno.
Bano babanja gavumenti obuwmbi 29 nomusobyo, eze nyongereza wabula ezibaddenga zitabawebwa ku misaala gyabwe.
Ate mungeri yeemu nabasomesa ku ttendekero lya Makerere University Business School balaliise eri bakama baabwe nti ssi baakukola, okutandika nennaku zomwezi 19th.
Bano mu kibiina ekibagatta ekya Makerere University Business School Academic Staff Association bagambye nti bagenda kugoberera ekyasalibwawo awamu ne banababawe obutakola.
Sentebbe waabwe Albert Miwanda, agambye nti mpaawo musomesa agenda kukola.