Omu ku basingisiddwa emisango gyokutega bbomu ezatta bannayuganda wano mu Kampala mu mwaka gwa 2010 awereddwa ekibonerezo kyakukola bulungi bwansi.
Muzafar Luyima avunanibwa kukweka bantu abakyamu, okuli Baganda be babiri nga bano basingisiddwa emisango gyobutujju.
Omulamuzi wa kooti enkulu Alphonse Owiny Dolo ono amulagidde okulongoosa okumala omwaka mulamba.
Kati ekibonerezo agenda kukikolera wali mu Para Zone e Namasuba ku nkingizzi zekibuga Kampala mu Division ye Makindye, ngagenda kulondolebwa ssentebbe we kyalo nomuddumizi wa poliiis.
Omulamuzi Alfonse Owiny-Dollo era essawa yonna agenda kuwa abasigadde ebibonerezo. Abantu 8 bebasingisiddwa emisango gyobuttujju nobutemu.
Bbomu ezomudiringanwa zatta abantu abali mu 70 wali ku Kyadondo Rugby Grounds ne Ethiopian Restaurant e Kabalagala abali balaba empaka za World Cup ezakamalirizo.
Oludda oluwaabi olukumberwamu Lino Anguzo lwategezezza nti Muzafar Luyima ono ddala yabadde agwanidde okuvunanibwa waddenga abadde ku alimanda okumala emyaka 5 kubanga yatatira abamenyi bamateeka.
Olunaku lweggulo 8 ku bantu 13 basingisiddwa emisango ate 5 babegyereza.
Begwasse mu vvi kuliko Issa Ahmed Luyima, Hassan Haruna Luyima, Muzafar Luyima nga bano banna-Uganda.
Abalala kuliko Habibu Sulaiman Njoroge, Muhammed Hamidu Ali, Hussein Hassan Agade, Edris Magondu, Muhammed Ali Muhammad nga bonna banna-Kenya wamu n’omu Tanzania Hijjar Suleiman Nyamandondo.
Bano babasingisizza emisango 76 egyobutemu, 10 gyakugezaako okutta negyobutujju.
Abejerezeddwa kuliko Yahaya Suleiman Mbuthia, Omar Award Omar ne Muhammed Ahmed Suleiman bonna bann-Kenya.
Bannayuganda abejerezeddwa kuliko Dr. Ismail Kalule ne Abubakar Batemyetto.
Emisango gino ekibonerezo ekisembayo kyakuttibwa.
Kooti mu kiseera kino ewumuddemu egenda kuddamu okutuula ku ssaawa 9, nabasigadde 7 baweebwe ebibonerezo.