Bya Ndaye Moses.
Government ye gwanga ekaladde newakanya ebibadde bitandise okusasaana nti Uganda amabanja gagituuse mu bulago, era nga gyebinagwera nga ebintu bya Uganda bitandise okuwambibwa.
Ssabiiti ewedde Alipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya government yalaga nga Uganda kaakano bwebangibwa obusiriivu 41, kale nga zino zikola ebitundu nga 41% ku by’enfuna bye gwanga
Kati kino kyekyaavirako ebibiina by’obwanakyeewa gamba nga CSBAG okulaga obwenyamivu nga bagamba nti kati Uganda eringa etundwa mu biwagu.
Wabula leero minister akola ku by’ensimbi Matia Kasaijja ayogedeko ne banamawulire naagamba nti situgaanye ebanja lino dene naye terinatuuka ku bitundu 50% eby’ebyenfuna bye gwanga, kale nga kiraga nti government ekyasobola okulisasula.
Ono agamba nti ensimbi government zeyeewola zakutwala akadde nga zisasulwa, kale nga kino kiwa Uganda obudde obumala okwesonda okusasula amabanja gano.